Amawulire

Kivejjinja akomyeewo mu kabineti- Aronda afunye omusika

Ali Mivule

November 16th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ajjuzza ebifo ebikalu  mu kabineti ye.

Ali Kirunda Kivejinja kati ye mumyuka wa ssabamisita ow’okusatu era minisita w’ensonga za East Africa.

Rose Akol ye minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga omuggya ng’azze mu kifo ky’omugenzi Gen Aronda Nyakayirima eyafa mu mwezi gw’omwenda.

Mu kiseera kino Akol ye mubaka omukyala owe  Bukedea nga era kamissiona mu palamenti.

Ye Werikhe Kafabusa kati ye minisita omubeezi ow’amakolero.

Munnamawulire wa pulezidenti Linda Nabusaayi akakasizza bino n’ategeeza ng’amanya ga bano bwegamaze okuwerezebwa mu palamenti okukakasibwa.