Amawulire

Kirumira yekandazze okuva mu maaso ga kooti

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Wabaddewo akavuvungano ku kitebbe kya poliisi e Naguru, eyali omuddumizi wa poliisi mu district ye Buyende Muhammad Kirumira bwagezezaako okufuluma, okuva mu kooti ya poliisi emuwozesa ngawakanya embeera eyobukambwe nobukwakulizo obumutekeddwako ku kusaba kwe okwokweyimirirwa.

Kirumira ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde yasaba okwyimirirwa mu kooti eno, wabula bamuetegezeza nti yetaaga abasirikale babiri abamuli waggulu mu madaala okusobola okuyimbulwa.

Ono era bamuteegezza nti wakweyanjulanga ku kitebbe kya poliisi ekikwasisa abasirikale empisa ekya PSU buli lunnaku.

Kirumira bwawulidde bino nazikubamu makiikakiika okwaka nagezaako okufuluma.

Ategezeza nti ebibye byonna okuli namasimu byamujiddwako, kalenga tewali ngeri yonna gyayinza kuwuliziganya nabantu abayinza okumweyimirira.

Gyebigweredde nga bamuzizaayo e Nalufenya, mu district ye Jinja.