Amawulire

Kiggundu alabudde bannabyabufuzi

Ali Mivule

November 6th, 2015

No comments

Ssentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu alabudde bannabyabufuzi ku kumal agamokkola gagambo agayinza okuzaala entalo.

Kiggundu bino ebyogedde ayogerera ku kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa aba ACODE ku ngeri y’okukumaamu emirembe mu biseera by’okulonda

Kiggundu agambye nti akitegedddeko nti waliwo bannabyabufuzi abakunga abawagizi baabwe okukola effujjo mu kuyigga akalulu.

 

Bbo Ab’amaggye bagamba nti tebajja kulonzalonza kugoloa abo abakola effujjo ettumba ssinga bamala nebabayita nga poliisi eremereddwa.

Bino byogeddwa akola ku nsonga z’ebyobufuzi mu maggye Col Felix Kulaigye agamba nti tebajja kukkirizza ggwanga kudda mu kavuyo mu biseera by’okulonda

Okulabula kwa Kulaigye kuzze ng’akulira FDC Dr Kiiza Besigye yakamala okuwera nti tebajja kukkiriza kulinnyibwaako nga kyebagaala beebantu okubeera n’obuyinza bubaweebwa semateeka.

Kulaigye agambye nti tebajja kutuula nga balaba ebintu biwaba

 

Ng’amaggye gawera, aba FDC bagamba nti tebajja kugoberera biragiro bya poliisi oba akakiiko akalondesa kait abinaaba nga tebiri mu mateeka.

Akulira abavubuka mu FDC Francis Mwijukye agambye nti ebitongole bino biyinza okwagala okubalemesa ekintu kyebatajja kukkiriza.