Amawulire

KI loole ekirala kigudde

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

TRack stuck

Omusajja omu addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka ki fuso bwekiremedde omugoba waakyo.

Bino bibadde ku ssekabaka ku luguudo oluva e Wakaliga okudda e Nateete.

 

Ki loole kino no. UAJ 341 M kibadde mu jaamu kyokka nga bwekisimbudde kigaanye okusiba era dereeva waakyo mu kukiwugula okutaasa emmotoka endala n’akikuba wansi endabirwaamu nezimusalasala.

 

Offiisa w’entambula y’ebidduka abadde mu kitundu kino Silomena Asiimwe agambye nti dereeva akoseddwa ategerekese  nfa Mustafa Kinene.

 

Akabenje akatadde ku mbeera embi emmotoka mw’ebadde.

Ekyewunyisa nti ekimotoka kino kibadde kikubyeeko engano era ng’abantu bavulubanye nga bagaala okugibba naye nga poliisi ebaddewo okutangira bakyala kimpadde bano

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *