Amawulire

KCCA yegaanye okugaana abasiraamu okwaziina

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

musisi

Ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya Kampala capital city authority kyeganye ebigambibwa nti kyaweze okwaziina ku mizikiti gy’abasiraamu.

Kino kiddiridde abakulembeze babayisiramu okuvumirira kino

Kigambibwa nti mu bbaluwa gyeyawandiika nga 17th September, akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi yawandikira Mufti  Sheikh Shaban Mubajje, ng’amuyita mu lukungaana olwaali lukwata ku abawogganira abalala mu kibuga.

Wabula Muisisi yeganye ebbaluwa eno n’ategeeza nga bweyayita Mufti mu lukungaana luno nga abakulembeze ab’enzikiriza endala okuteesa ku ngeri y’okuddukanyamu amasinzizo  agali mu kampala.

Wabula alabudde okuggala amakanisa gonna  agategeka okusaba okusukka ku ssaawa nnya ez’ekiro naddala ago agazimbibwa mu bifo omuli abantu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *