Amawulire

KCCA eyongezaayo ennaku ezókuggulirako Paaka enkadde

KCCA eyongezaayo ennaku ezókuggulirako Paaka enkadde

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kya KCCA kyongezayo olunaku olwókuggulirawo paaka ya taxi enkadde eri mu kudabirizibwa.

Kyebuvudeko KCCA yali yalaga nti olunaku olwaleero lwebalina okugulawo paaka ebadde mu kudabirizibwa ebbanga kati lya mwaka mulamba.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa olunaku lweggulo abakulu mu KCCA bategezeza nti basazeewo okwongezayo ennaku oluvanyuma lwokwegeyamu ne bekikwatako basobole okumaliririza okukanya ku nzirukanya yé mirimu mu paaka eno.

KCCA yayakasiza nti bakuggula paaka eno nga bamaze okulaba siteegi zonna kyanguyirwe abagenda okugikozesa.

Bwegwa yakubeera mu mikono kya kitongole kino.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *