Amawulire

KCCA ekwataganye ne Redcross okuyamba abalwadde ba covid

KCCA ekwataganye ne Redcross okuyamba abalwadde ba covid

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago akwataganye ne kitongole kya Red Cross Society okudukirira bannakampala nobuyambi obwenjawulo mu kiseera kino ekyomuggalo

Lukwago agamba nti enkolagana eno okusinga yakutasa abalwadde ba covid-19 okusobola okubatuusa mu malwaliro so nabafudde okudukira emirambo gyabwe nabendwadde endala bakuyambibwa okutambuzibwa.

 

Bano okuvaayo bwebati kidiridde olunaku lweggulo aba redcross okukukunula omulambo gwa gambibwa okuba nti yafudde covid okuva mu makage mwamaze ennaku 2 nga yafadda wali mu Bulwa zone ekisangibwa mu gombolola ye Rubaga.

Lukwago wano wasabidde ne bannaUganda abalina obusobozi ne bitongole okubawa entambula omuli ne ambulance ezinayamba ku balwadde mu kiseera kino ekyomuggalo.

Mu kiseera kino KCCA erina ambulance 5 kyokka nga ebbiri tezikyakola.