Amawulire
KCCA Ejje Abakwasisa Amateeka mu Kibuga
KAMPALA
Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kya Kampala capital city authority kitegeezeza nga bwekijuludde abakwasisa amateeka bonna ababde ku nguudo za kampala, ngabamba nti batidde okutusibwako obulabe.
Bano okuvaayo kidiridde eneeyisa ya’bantu bano okuvaako emitawaana, nga bano baatuuse n’okugoba omukyala omutembeeyi okukakana ngaguddde mu mwala naafa
Omwofezi wekitongole kya KCCA Peter Kauju agambye nti baludde nga bafuna okutisiibwa okuvva mu bantu babulijjo, kwekusalawo okugira nga batta ku bigere okutuuusa nga bafunye obukuumi obumala.
Bino byonna byadirira Omukyala Olivia Basemera, owemyaka 35 abakwasisa amateeka okumugoba nagwa mu mwala nafa ku nkomerero ya wiiki ewedde.
Mungeri dwo olukiiko lwekibuga olwa KCCA lutegeezeza nga bwerugenda okutandika okukubaganya ebirowoozo ku tteeka erigenda okulambika enkola ne nneyisa yabakozi bano.
LORD Mayor wa Kampala Erias Lukwago agambye nti abebyekikugu akadde konna bagenda kuvaayo ne bbago lye tteeka erigenda okumalawo emivuyo nobukambwe bwabakwasisa amateeka.
Ono ategeezeza nti akulira ebyamateeka mu KCCA yakanyiza dda ku nsonga eno okuleeta ebago lino mu sabiiti emu yokka.