Amawulire

Kayanja Deepaul awawabidde Rulinda

Kayanja Deepaul awawabidde Rulinda

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abadde meeya wa munisipaali ye’Entebbe addukidde mu kooti enkulu e Kampala okuwakanya okulondebwa kwa Fabrice Rulinda.

Mu mpaaba ye, Vincent Kayanja Dee-Paul agamba nti okulonda okwaliwo nga 25 January 2021 tekwagoberera mateeka.

Akakiiko kebyokulonda kaali kalangiririra Rulinda ku buwanguzi nobululu 6,703 nekuddako owa NRM Michael Mutebi Kabwama n’obululu 6,342 olwo Kyanja Dee-Paul owa DP nagoberera n’obululu 5,576.

Kayanja agamba nti ebyava mu kulonda okuva mu bifo 74 okuli Bugonga Boys P/S A to J, babikyusa.

Kayanja aliko vvulugu omulala gwatwalidde kooti, era ayagala okulondebwa kwa Rulinda kusazibwemu.