Amawulire

Katumba John alaze entekateeka z’okukuuma akalulu

Katumba John alaze entekateeka z’okukuuma akalulu

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Entekatekateeka zigenda mu maaso, eri abesimbyewo ku bukulembeze bwe gwanga, nga batema empenda kungeri gyebagenda okukumamu akalulu kaabwe.

Bino webijidde nga ngebula mbale okutuuka ku lunnaku lwokulonda kwa bonna, okwanga 14 January, 2021.

Bwabadde ayogerako naffe, atalinakibiina mweyajira okuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga Katumba John, agembye nti agenda kweyambisa nnyo emitimbagano.

Katumba wabula agambye nti amaanyi gamuli mu banna- Uganda, bonna bayagala babeere ba agenti we.

Kutumba era agambye nti agenda kutondawo ekifo, wagenda okubalira aobululu bwe oba tally centre, wabulanga ekifo wabanasinziira waakukyanjula guebujjako.

Abalala, aba NUP bavumbudde application, okuyita ku masimu abantu gyebagenda okukozesa okulaga ebivudde mu bifo ebyenjawulo.

Gyebuvuddeko naba NRM bategezezza nga bwebalina entekateeka oku okusomesa aba agenti baabwe abagenda okukuuma obululu bwabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *