Amawulire

Kattikiro asisinkanye Magogo

Ivan Ssenabulya

March 13th, 2018

No comments

Bya Shamim Natebwa

File Photo: Magogo owa Fufa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akalatidde abadukanya omuzanyo gwomupiira mu gwanga okussa esiira mu kuwangaana amagezi.

Owembuga okwogera bino abadde asisinkanye akuliira omuzannyo gwomupiira mu gwanga Eng. Moses Magogo okukubaganya ebirowoozo ku nkulakulanya yomupiira wakati wobwakabaka bwa Buganda ne FUFA.

Eno Presidenti wa FUFA Eng. Moses Magogo anyonyodde Katikkiro ku ntekateeka empya gyebalina eya FUFA  DRUM empaka ezokuwakanira amasaza 16 agobwakabaka.

Magogo anyonyodde nti tewagenda uberawo bukubagano bwonna, wakati wempaka zonna.