Amawulire

Kattikiro alambudde Twekobe

Kattikiro alambudde Twekobe

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, alambudde emirimu egikolebwa ku Twekobe mu kwetegekera Jubireewo, okuzzaamu amaanyi abakozi.

Abali ku mirimu gino owembuga abebaza olw’okwewaayo okuweereza Obuganda awatali mpeera.

Egimu ku mirimu egikolebwa mwe muli ogwa Twekobe Ejjudde, okugiyooyoota n’okussaamu byonna ebyetaagisa era yakukwasibwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ku lwokubiri lwa ssabbiiti egya nga 24.

Omulimu omulala gwe gw’okuzimba bbugwe w’olubiri olwomunda, ogukolebwa Baganda Nkerettanyi mu kwetegekera entikko y’emikolo gya Jubireewo age Mpologoma ya Buganda ag’emyaka 25, aganabaawo nga 31 omwezi guno mu Lubiri e Mmengo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti bagala nga 22 omwezi guno, ng’emirimu gyonna ku Twekobe jijiddwako engalo.

Kati Ssentebe wa Baganda Nkerettanyi Kalibbala Aliddeki, azzeemu okukunga Buganda yonna okubegattako, kuba ennaku ze basigazzaayo ntono.