Amawulire

Kato Kajubi ayimbulwe-Bannamateeka

Ali Mivule

March 31st, 2014

No comments

kajubi

Bannamateeka b’omusuubuzi Kato kajubi basabye kkooti eyimbule omuntu waabwe

Bano nga bakulembeddwaamu Anthony Wameri bategeezezza nti omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka yalemererwa okukwataganya obujulizi obwaleetebwa omusawo w’ekinnansi Umar Kateregga ne mukyala we Mariam Nabukeera ku Kajubi

Kajubi awakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n’eky’okusingisibwa omusango.

Yasibwa mayisa lwa kusaddaaka akalenzi ak’emyaka 12 nga kano kaali kamanyiddwa nga Joseph Kasirye.

Kajubi kigambibwa nti yekobaana n’omusawo w’ekinansi Umar kateregga okukola kino mu mwaka gwa 2008.

Omulambo gw’omwana ono gwasangibwa nga gusuuliddwa mu kitoogo e masaka