Amawulire

Katikkiro kikakasiddwa wakukyaalira palamenti

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Katikkiro Mayiga at Kasubi

Spiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga akakasizza nti Katikkiro wa Buganda ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga wakukyaala mu palamenti

Kamalabyonna agenda kuba akulembeddemu omulimu gw’okusonda ensimbi z’amasiro ge Kasubi ng’omulimu guno gugenda mu maaso okwetoloola ebitundu bya Buganda ebitali bimu.

Akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda, Godfrey Kiwanda ategeezezza bannamawulire nti katikiro tagenda kukyalira Baganda bokka wabula palamenti ng’ekitongole okutwaliza awamu

Omwogezi wa kabondo kano, Latif Ssebaggala agamba nti katikiro wakusooka kusisinkana babaka, asisinkane abakozi mu palamenti n’oluvanyuma yeetabe mu kuteesa okwawamu

Gwo omulimu gw’okusonda gugenze mu maaso n’olwaleero ng’era amakanda katikkiro agasimbye Kasubi

Eno abantu basonze ensimbi, n’ebintu ebikalu nga kati obukadde obusoba mu 70 zeezakakungaanyizibwa mu nnaku 2 katikkiro z’amaze e Kasubi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *