Amawulire

Katikkiro avumiridde obukambwe bwa poliisi ku bayizi e Makerere

Katikkiro avumiridde obukambwe bwa poliisi ku bayizi e Makerere

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2019

No comments

Bya Shamimu Nateebwa, Katikkiro avumiridde ebikolwa eby’obukambwe ebikolebwa ku bayizi mu matendekero aga waggulu.

Katikkiro okwogera bino abadde ayogerako eri banna buddu abakiise embuga mu nkola ya luwalo lwaffe ku bulange.

Kamalabyonna ategeezezza nti waliwo okusereba mu byenjigiriza mu ggwanga nga kino kireeteddwawo ebikolwa eby’obukambwe ebiri mu matendekero aga waggulu abazadde gyebaagala abaana baabwe bagende, naye amatendekero gano tegakyalimu kuwuliziganya, temukyali kuteeseganya, buli nsonga eggwera mu miggo na masasi nga bwekyabadde e makerere.

Katikkiro agambye nti ebikolwa omuli okukuba abaamawulire, okutulugunya abooludda oluvuganya gavumenti, byonna biraga ekifaananyi ekibi eri emiti emito.

Asinzidde wano naasaba abazadde okutwala obuvunaanyizibwa okusomesa abaana basobole okussa ettoffaali ku buganda n’okuzzaawo ekkula ery’ensi uganda.

Agambye nti buli muzadde alina okukimanya nti okuweerera omwana buvunaanyizibwabwe.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, joseph kawuki yeebazizza abaami ba kabaka olw’okuyingiza abaana abato mu mirimu gy’obwakabaka nga bakiise embuga.

Ku mukolo gwegumu, Katikkiro aguze emigabo gya mitwalo abiri (200,000) mu Essuubiryo Zambogo Sacco, wano wasinzidde naakubiriza abantu ba buganda okwemanyiiza enkola ya ffissa, tereka, siga okusobola okwekulaakulanya.

Omugatte ogwawamu: 21,830,000m