Amawulire

Katemba nga bakansala bakunyizibwa

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Councillors grilled

Abadde katemba mu kakiiko akatekebaawo okuwulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abagala okuggya obwesige mu lord mayor wa kampala Erias Lukwago.

Lord mayor yeyasoose okwekandaga nava awatula akakiiko kano oluvanyuma lw’okuganibwa okuyingira munda.

Banamateeka ba Lukwago bagenze maaso n’okusoya bakansala abasoosewo ebibuuzo era  kansala Hope Tumushabe yasoosewo.

Ono bw’abuuziddwa munnamateka wa Lukwago ku byebalumiriza lord mayor obutayita nkiiko , saako ne bakansala obutakiika mu nkugaana zino, ategeezezza nga naye bwebyamusobera edda.

Ategeezezza nga bweyali tamanyi kyakukola oluvanyuma lw’akulira ekibuga Jenifer Musisi okubasindikira nga amabaluwa ategeezezza nti  enkiiko zino zaali zimenya mateeka.

 

Kino kiddiridde munnamateeka wa Lukwago Abdul Katuntu okumujirayo bwiino alaga nga Lord Mayor bweyayita enkiiko ezisoba mu 10 nga bakasnasala bazebalama.