Amawulire

Katemba mu Kulayiza Bakansala ku City Hall

Katemba mu Kulayiza Bakansala ku City Hall

Ivan Ssenabulya

May 26th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago akubye ebilayiro bye okukulembera ekibuga ekisanja ekyókusatu.

Omukolo gwókulayira ogutegekeddwa ku City Hall mu Kampala, gukulembedwamu omulamuzi wa kkooti Buganda, Ayo Miriam Akello era bakansala abakiika mu lukiiko lwa KCCA 54 bakubye ebirayiro byabwe.

Ku bano kubadeko abékibiina kya National Unity Platform 47, aba NRM 4 ate aba FDC 3.

Lukwago awerekedwako mukyalawe Nnabaana akubye ebirayiro bye akulembere ekibuga emyaka emirala etaano.

Yasooka okulondebwa ku kifo kya Loodi Meeya wa Kampala mu 2011, nakomawo mu 2016 era bannakampala ne bamwogera ekisanja ekyokusatu mu kalulu akaali akebugumu enyo aka January wa 2021

Lukwago yawangula nóbululu 194592 ate munne bwebeeli ku mbiranye Nabillah Nagayi Sempala owa National Unity Platform nafuna obululu 60082.

Mu kusooka wabaddewo katemba n’akajagalalo ku mukolo gwokulayiza abakulembeze abapya ku lukiiko lwekibuga kya KCCA, wali ku City Hall.

Kino kidiridde omu kuba kansala, Moses Kataabu okugenda ku katuuti okulayira nga yesibye enjegere ngayambadde nenkofiira ya NUP emyufu ngakakatanye nebipapula okubadde kuwandikiddwa ebigambo, eri gavumenti eyimbule abwagizi ba NUP.

Kino kiwalirizza omulamuzi wa kooti ya Buganda road Mariam Akello Ayo okusooka okuyimiriza ebyokulayira, olwa Kataabu abadde agaanye okugoberera ebiragiro byomulamuzi.

Oluvanyuma okulayira kuzeemu, nga lord mayor elect Erias Lukwago yoomu ku balainze abagenda okulayira olwaleero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *