Amawulire

Kanyamunyu byongedde okumwononekera

Kanyamunyu byongedde okumwononekera

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2020

No comments

Bya Ruth Anderah, Mathew kanyamunyu agambibwa okutta eyali omulwanirizi w’eddembe lya baana Kenneth Akena ebintu byongedde okumudugalirira oluvanyuma lw’omukugu mu kwetegereza enkozesa y’emmundu okutegeeza kkooti nti obuganga bw’emmundu eyakozesebwa okutta omugenzi bwasangibwa kungoye za kanyamunyu ne mumotokaye

Robinah Kirinya okva mu laboratory ya gavumenti bwalabiseeko mu kkooti enkulu enkya ya leero mu maaso gomulamuzi Steven Mubiru, agambye nti bweyekebejja engoye za kanyamunyu, empale ne silevuleesi byeyalimu byalina obuganga bw’emmundu yennyini gye bakozesa okutta.

Kanyamunyu avunananibwa ne Cynthia Munwangari okutta Akena mu mwezi gwa musenene mu 2016 e Lugogo ku luguudo lwa Jinja road.

Kirinya mungeri yemu ategeezeza nga n’emotoka ya kanyamunyu Prado namba UAW 548M mweyakweka emmundu oluvanyuma lw’okutta Akena bweyasangibwamu obuganga