Amawulire

Kanivo y’omwaka guno bajisazizaamu

Kanivo y’omwaka guno bajisazizaamu

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kya Kampala Capital city Authority, kisazizaamu ebikujjuko bya City Carnival ebibadde bibindabinda okubaawo omwezi oguja.

Bano bategezeza nti kati ensimbi ezibadde zitegeka ebikujjuko bino zigenda kutekebwa mu kuzimba amasomero namalwaliro.

Bwabadde ayogera nebanamwulire ku City Hall, wano mu Kampala akulira emirimu egyekikugu ku KCCA Jenipher Musisi Ssemakula, agambye nti baakoze kino oluvanyuma lwokwebuuza ekimala ku baabadde bavujiridde ebikujjuko bino.

Agambye nti bagenda kukozesa akawumbi 1 nobukadde 90 okudabiriza amasomero ga gavumenti, namalwaliro mu ntekayeeka eno.

Kati agambye nti ensimbi ezimu bagenda kuziozaayo eri, ababadde bataddemu ssente.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *