Amawulire

Kampuni ezirmba bannayunda emirimo zakunonyerezaako.

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses.

Ababaka abatuula ku kakiiko ka parliament akakola ku kikula ky’abantu basabye ministry ekola ku kikula ky’abantu okwanguwa okukangavula company zabafere ezijja ensimbi ku banayuganda  nga babalimba okubawa emirimo.

Twogedeko ne Beatrice Anywar  nga ono y’amyuka ssentebe w’akakiiko kano nagamba nti egwanga ligwana okwanguwa okukuuma banansi, okuva eri bano abefunyiridde ku gwokubanyaga.

Ono agamba nti abantu bangi bazze bawalirizibwa n’okutunda ebyabwe omuli etaka nga basubira emirimo, kyoka nga ensimbi zonna zigenda mu bano abafere.