Amawulire

Kampuni 8 ezitwala abantu ebweru zijiddwako layisinsi

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Minisitule yensonga z’omunda mu gwanga eriko layisinsi zamakampuni 8 zebasazizaamu, ezibaddega zitwala abantu emitalawamayanja.

Kino bamba nti kyadiridde okwemulugunya okwamaanyi kwebafunye okuva mu bantu abawerako ku makampuni gano.

Kino kibotoddwa Agnes Igoye amyuka akulira entekateeka zokulwanyisa ekikukusa bantu, ngagambye nti okusalawo bwebati bakoledde wamu ne minisitule yekikula kyabantu.

Ono agambye nti amakampuni 216 gegali mu gwanga, agawnadisbwa okutwala abantu ebweru okukuba ekyeyo.