Amawulire

Kampeyini zikomekerezebwa olwaleero

Kampeyini zikomekerezebwa olwaleero

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2021

No comments

Bya Musasi waffe

Okuwenja akalulu eri abavuganya ku bukulembeze bwe gwanga nababaka ba palamenti, kugenda kuggalwawo olwaleero, ngokulonda kwa bonna kubindabinda.

Kampeyini zino zikulungudde ennaku 60 ngabesimbyewo naddala ku kifo kyomukulmbeze we gwanga batalaze ebitundu bye gwanga ebyenjawulo okumatiza amalonzi.

Wabula obunkenke bubadde bwamaanyi, abebyokwerinda nga bezooba nabesimbyewo naddala aboludda oluvuganya gavumenti, ku nsonga zokutekesa mu nkola amateeka nebiragiro ebyayisibwa ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Abantu 11 bebawandisibwa okuvuganya ku bukulembeze okuli Yoweri Museveni owa NRM, Robert Kyagulanyi owa NUP, Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation, Eng Patrick Amuriat Oboi owa FDC ne Norbert Mao owa DP.

Abalala kuliko Henry Tumukunde, John Katumba, Fred Mwesigye, Joseph Kabuleta, Willy Mayambala ne Nancy Kalembe bonna abatalina kibiina mwebajjira.

Kati nga kampyini zigenda okukomekerezebwa olwaleero Yoweri Museveni asubirwa akwogerako eri egwanga akawungeezi ka leero, atenga abalala kampeyini zaagotaana oluvanyuma lwokuziwera mu disitulikiti enondobemu gyebaali batanatuuka.