Amawulire

Kamoga bamummye okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali akulira abayisiraamu aba-Tabliq mu gwanga Amir Sheikh Yunus Kamoga kooti ejjulirwamu egaanye okumuwa okweyimirirwa.

Sheikh Kamoga ali ku kibonerezo kyakusibwa mayisa ku misango gyobutujju egyamusingisibwa kooti enkulu ewozesa ba kalintalo.

Mu nnamula ye omulamuzi Christopher Madrama asibidde ku awo wennyini, nga bweyalamula wiiki ewedde ku musango gwa Sheikh Siraje Kawooya eyali asabye naye okweyimirirwa.

Kooti ejunguludde okusaba kwa Sheikh Kamoga nensonga zeyasinzirako okuli obukadde nga bwewezezza emyaka 66, obuvunayizibwa bwawaka ngomuzadde, ebirwadde ebibuluma nebiralala, nti yalemwa okulaga obujulizi nti ddala e Luzira tafuna bujanjabi.

Kamoga nabayisiraamu abalala 7 basingsibwa emisango egyekuusa ku butujju nebasibwa mayisa nabalala emyaka 30 kabula muliro.