Amawulire

Kaliisoliiso alagidde ab’eby’enguudo bagobwe

Ali Mivule

August 29th, 2014

No comments

 

mullll

Kaliisoliiso wa gavumenti alagidde ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ky’ebyenguudo okuyimiriza mbagirawo abakungu b’ekitongole kino ab’okuntikko olw’ensimbi ezaaliibwa nga zaali zakuddabiriza luguudo lw’e Mukono okudda e Katosi n’ebitundu ebirala.

Bano kuliko akulira ekitongole kino , Ssebuga Kimeze, akulira eby’ensimbi , Joe Ssemugooma, akulira eby’amateeka Marvin Baryaruha ne David Luyimbazi nga ono y’akulira ebyenteekateeka.

Mu kiwandiiko ekikambwe kyafulumizza, Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja, ategezezza nga bano bwebasaana okugobwa olw’engeri y’amancoolo eyasasulibwamu obuwumbi obusoba mu 24 eri kampuni enzimbi y’enguudo eya Eutaw inc okuva mu ggwanga lya Amerika.

Bano tebaasobola kulemesa bulindo bwa nsimbi zino kusasulibwa eri abafere abefuula abakozi ba kampuni eno wabula nga abagikulira mpaawo kyebamanyi.

Mulyagonja agamba bano basaanye okugira nga baddako ebbali okutuusa nga okunonyereza kwonna kuwedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *