Amawulire

Kalicculaamu eppya etandika ku bbalaza

Kalicculaamu eppya etandika ku bbalaza

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2020

No comments

Bya Damali Mukhaye, Ekibiina ekitwala eby’ensoma mu ggwanga ki National Curriculum Development Centre kiragidde abakulu bamasomero wonna mu ggwanga okuteeka munkola emisomo egirambikidwa mu mu nnambika ye bisomesebwa eppya okutandika nolunaku lwe mbalaza olwa ssabiiti ejja.

Kino kidiridde cabinet okuyisa kalicculaamu eno newankubadde palament yali yalagira esooke eyimirizibwe gavumenti esooke yetegeke bulungi.

Kati omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Rebecca kadaga ayise minisita we byenjigiriza anyonyole lwaki ekiragiro kya palamenti kyayisidwamu olugaayu

Wabula ye akulira Curriculum Development Centre Dr Grace Baguma agamba nti amasomero gonna galina okutandika okusomesa abayizi okusinzira ku kalucculaamu eno.

Mu kalicculaamu eno ebisomesebwa abayizi byasaliddwa okuva ku sbujekiti 43 okudda 21 nga bayigirizibwa ebyo ebiyinza okubayamba mu bisera byabwe ebyomumaaso