Amawulire

Kaihura bamututte mu kooti olwokuzinda palamenti

Ivan Ssenabulya

November 14th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Amalala agekuusa ku poliisi, waliwo abantu 3 abatutte ssabapoliisi we gwanga mu kooti olwokumala gayingiza abasirikale mu kisenge kya palmenti ebyaliwo nga 26th ne 27th mu September, womwaka guno, mu kulwanagana okwaliwo nababaka.

Mawanda Sulaiman, Matovu Mark ne Lubowa Henry bayise mu banamteeka ba Newmark Advocates, nga bagala kooti erangirire nti ebiragiro bya IGP abebyokwerinda okuzinda palmenti byali bimenya mateeka.

Era bagala nti General Edward Kale Kayihura atekebweko ekiragiro obutaddamu kumala gadumira basirikale okuyingira mu palamenti okutataganya emirimu.

Bino webijidde nga nomukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yawandikidde omukulembeze we gwanga Yoweri K Museveni ebbaluwa ngayagala okumanya ku byaliwo gyebuvuddeko, era baani abalumba palamenti nokulumya ababaka.

Bino byonna byaliwo nga 27th September ebbago lyomubaka wa Igara West Rapheal Magezi, eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwangabwelyali lyanjulwa.

mu mpaaba yaabwe era banokoddeyo ababaka abanejauwlo ababuuka nobuvune.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *