Amawulire

Kaihura ayitiddwa ku by’ettaka

Ali Mivule

August 21st, 2013

No comments

Kaihura Vs Nantaba

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’obuzimbi basazeewo okuyita senkaggale wa Poliisi Gen Kale Kaihura

Gen Kaihura ayitiddwa okutangaaza ku byayogeddwa minister Aida Nantaba nti y’akulembeddemu ababba ettaka

Nantaba yategeezezza nga buli w’alaga awali enkayaana z’ettaaka bw’asangawo omutwe gwa Kaihura naddala mu district gy’ava eye Kayunga

Ekiteeso ekiyita Kaihura kireeteddwa omubaka we Kilak, Gilbert Oulanyah ne kiwagirwa omubaka we Kyankwanzi Samuel Ssemugaba

Ababiri bano bagambye nti kiba kikyamu okuwulira okuva ku luuyi olumu nga bagaala bawulire n’okuva eri gen Kaihura

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *