Amawulire

Kadaga wakulamula ku tteeka ly’omusolo

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2018

No comments

File Photo:Omwogezi wa Palamenti ya uganda

Omukubiriza wolukiiko lwe gwanga Rebecca Kadaga olwaleero asubirwa okulamula obanga palamenti eyinza okuyimiriza etteeka, lyomusolo oluvanyuma lwokwebuuza aku banamateeka ba palamenti.

Kino kyadiridde gavumenti okugoba okusaba kwababaka abamu nti etteeka lyomusolo ogwayisibwa ogwa Excise Duty Amendment Act, 2018 lijira liwumuzibwa wakati mu kugutesaako.

Ababaka babadde basabye nti omusolo ogwa nusu 200 buli lunnaku weri abakozesa emikutu muyunga bantu ne 1% ku mobile money gujira aguwumuzibwa, wabula ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda yagambye nti gavumenti egenda kuleeta ebbego erye nnongosereza ku Lwokuna lwa wiiki ejja.

Ababaka bagamba nti okuteesa aku bbago erye nnongosereza kijja akutwala obudde obuwerako, kyenkana myezi 3 ngomusolo bwegugenda amu maaso okukosa abantu atenga nensimbi ezinabajibwakao oluvanayuma lwe nnongosereza tezijja akubadizibwa.

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante yeyasabye nti etteeka lijira liwumuzibwa.

Mungeri yeemu ne minister webyensimbi Matia Kasaija olwaleero asubirwa okwetondera palamanti olwokuwabya ababaka, nti omusolo ku mobile money gwajja amu nsobi.