Amawulire

Kadaga ayagala watekebwewo ekitongole ekikola ku busiimo bya bakozi ba Gavt

Kadaga ayagala watekebwewo ekitongole ekikola ku busiimo bya bakozi ba Gavt

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2021

No comments

File Photo:Omwogezi wa Palamenti ya uganda

Bya Damali Mukhaye,

Omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga ayagala wabeewo ekitongole kya gavt ekyetengeredde ekigenda okukwasaganya obusiimo bwa bakozi ba gavt abawumudde ku mirimu ne balemererwa okufuna obusiimo bwabwe mu budde.

Kino kidirdde omumyuka wa kaliisoliiso wa gavt George Bamugemereire okusaba palamenti enogere ensonga eno eddagala kubangi ku baali abakozi ba gavt bakaaba.

Mu kumwanukula Kadaga alaze obwenyamivu okulaba nti abantu abakolera eggwanga ate bwebawumula baddanga okufuna obusiimo bwabwe.

Kati ayagala wabeewo ekitongole ekyetengeredde ekilondoola ensonga eno.

Mungeri yemu palamenti yakuteekawo akakiiko akakwasaganya ensonga zo bukenuzi nga bwebatekawo akakola ku ddembe lyobuntu.