Amawulire

Kadaga asubizza okwasanguza abasanyawo ebibira

Kadaga asubizza okwasanguza abasanyawo ebibira

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alayidde nti agenda kwanja nokuswaza abanenene mu gwanga abetaba mu kutema emiti nokusanyawo ebibira.

Kadaga agambye nti waddenga amateeka wegali mangi ate amalungi gebayisizza, okugateeka mu nkola kikyali kizibu nga kyekiviriddeko ebibira bye gwanga okusanawo.

Okwogera bino abadde mu kawefube owa bli mwaka, okusimba emiti, ngentekateeka ejidde ku lunnaku lwerumu olwebibira.

Entekateeka eno ywomeddwamu omutwe aba Uganda Breweries, nga bano bataddewo obukadde 333 okusimba emiti obukadde 40 mu myaka 5 ejijja.

Sipiika Kdaga, ategezezza nti palamenti egenda kuyisa ebbago eryenkyukakyuka yobudde, lyebatuuma climate change bill wiiki ejja.

Agambye nti ebbago lino ligenda kuyamba nnyo okutangira akatybag akenkyukakyuka yobudde.

Bino webijidde ngebibalo biraga nti ekitema miti mu gwanga kiyimirirdde ku 2% buli mwaka, nge kitegeeza nti hectare  ze’bibira akakadde 1 mu emitwalo 22 mu 2,000 byebisanyizibwawo buli mwaka, songa ebibira bigatta 6% ku byenfuna bye gwanga oba GDP.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *