Amawulire

Kadaga alumirizza Oulanya okwebulankanya ku mirimu

Kadaga alumirizza Oulanya okwebulankanya ku mirimu

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga ayambalidde omumyuka we Jacob Oulanya, bwebali mu lwokaano ku kifo kya sipiika mu palamenti emmpya eye 11.

Bwabadde atongoza kampeyini ze, Kadaga agambye nti Oulanya enfuna eziwera ayolesezza obunafu lubogye nokwebulankanya ku mirmu gye.

Bino webijidde nga waliwo okwemulugunya lwaki Oulanya yatwala omwaka mulamb nga takubirizza palamenti, nokuwanuuza nti Kdaga abadde tamuwa mukisa.

Wabula Kadaga agambye, nti Oulanya abaddenga amwekubako akubirize palimenti nayenga yebulankanya.

Kati abantu bebakavayo okulaga aobwagazi mu kifo kyomumyuka wa sipiika okuli Kadaga ne Jacob Oulanya nga bombi ba NRM, omubaka wa munisipaali ye Kira Ibrahim Semujju Nganda owa FDC nowa DP Richard Sebamala omubaka omulonde owa Bukoto West.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *