Amawulire

Kadaga alagidde poliisi baleeta eyatta omwana

Kadaga alagidde poliisi baleeta eyatta omwana

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde poliisi okunoonya bazuule musirikale ki eyakuba omwana owa S 2 amasasai namutta, mu bwegugungo obwabuna egwanga mu Novemba womwaka oguwedde nga buwakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulnyi, mu biseera bya kampeyini.

Kadaga okuyisa ekiragiro kino abadde asisinkanye Hajara Nakitto, maama wa Amos Ssegawa omulenzi owemyaka 15, -efaiira mu bwegugungo obwaliwo nga 18 nenkeera waalwo nga 19 Novemba omwaka oguwedde.

Nakitto asisinkanye sipiika ne baawe ne muwala waabwe, nebatageeza nti tebafunanga bwenkanya songa alipoota ziraga nti omwana yafa amasasai.

Kadaga ekiragiro akiwadde, akulira ebye ddembe lyobuntu mu poliisi Erasmus Twaruhukwa, okweyambisa camera zokunguudo okumanya musirikale ki eyatta omwana ataliiko musango.

Kino kyadiridde omukazi ono kwekalakaasa, ngabanaja obwenkanya ku nsonga eno.

Omukulembeze we gwanga yali yasubiza ti bakuliwa eri abantu abakosebwa mu bwegugungo buno, nayenga baali tebekalakaasa.