Amawulire

Kadaga agobye ababaka 3 abakava e Dubai

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2020

No comments

File Photo:Omukubiriza wa Palamenti ya uganda

Bya Kyeyune Moses ne Damalie Mukahye

Omukubiriza wa palamenti aliko ababaka 3 ababadde bakava e Dubai bagobye mu lutuula lwa leero.

Kuno kubaddeko omubaka wa Makindye Ssabagabo Emmanuel Ssempala Kigozi, omubaka omukyala owa district ye Lwengo Cissy Namujju nowe Nakifuma Eng. Robert Kafeero Sekitoleko.

Bano bayimiriiziddwa obutetaba mu ntuula za palamenti okumala ennaku 30 ezijja, nga sipiika abanenyezza olwobutassa kitiibwa mu biragiro bya gavumenti okweyawula.

Omubaka Ssempala olwaleero aganiddwa nokugenda mu kantiini ya palamenti, bwebamukebedde nga temperature ye eri waggulu ku degrees 40.

Omuntu omulamu temperature ye etekeddwa okubeera wansi wa 37.5 okudda wansi

Ugand eriko abantu abalala 8 beyakaksizza okubeera nekirwadde kya COVID-19, omuwendo ngulinnya okudda ku bantu 9.

Bino webijidde nga ministry yebyobulamu yayise abantu bonna, abakadda okuba mu United Arab Emirates mu mwezi guno, okugenda babakebere.

Ate omubaka wa Nakaseke south Lutamaguzi Ssemakula, awandikidde sipbuli mwezi ku musaala gwe zitekebwe mu ntekateeka zokulwanyisa ekirwadde kya corona.

Mu bbaluwa gywanadiise olwaleero nga 24 March 2020, Lutamaguzi says asabye nti kino kitandike nomwezi ogujja ogwa April.

Wano era asabye ne babaka banne, okumwegattako okuwagira gavumenti okuyamba abantu.