Amawulire

Kabuleta tasuubira bwenkanya mu kalulu

Kabuleta tasuubira bwenkanya mu kalulu

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Eyesimbyewo kubwa nnamunigina ku ntebbe eyomuk weggwanga Joseph Kabuleta asabye gavumenti ekakase bannauganda nti okulonda kwa 2021 ebinavaamu bigenda kuba byesigika

Kabuleta agamba nti yadde nga tasuubira bwenkanya mu kalulu kano bannauganda balina obusobozi obuleeta enkyukakyuka

Ono okwogera bino abadde ayanukula mulanga gwa kuyimiriza kakuyege nga banne abalala bwebakoze nga bawakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi ne Patrick Amuriat