Amawulire

Kabaka ayagaliza abasiraamu Eid enungi

Kabaka ayagaliza abasiraamu Eid enungi

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2020

No comments

Bya Shamim Nateebwa, Empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II, ayagaliza abasiraamu eid ennungi era n’abasaba basabire nyo abasawo abali ku mwanjo mu kujanjaba ekirwadde kya covid-19 ne bannasayansi basobole okufuna eddagala erikivumula.

Mu bubaka bwe obwa Eidh ssabasajja Kabaka agambye nti omwaka guno gubadde gwakusoomozebwa olwekirwadde ekiboyanyiza ensi eno.

N’akubiriza bannauganda okwongera okunyikira okugoberera ebiragiro byonna ebyayisibwa abakugu mu kulwanyisa akawuka aka corona

Mungeri yemu Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje akubiriza abasiraamu okusaalira mu maka gaabwe olunaku olweero beewale okukungana wakati mu kukuza Eid al-Adha mu kawefube owokwewala okusasanya ekirwadde.