Amawulire

Kabaka avumiridde obukambwe obukolebwa abakuuma ddembe

Kabaka avumiridde obukambwe obukolebwa abakuuma ddembe

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ben Jumbe, Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda mutebi 11, avumiridde obukambwe obubaddenga bilabika mu bakuuma ddembe ku abantu ba bulijjo.

Ssabasajja agambye nti abantu balina eddembe okukwatibwa obulungi nebwebabeera bazizza emisango, nebalyoka batwalibwa okuvunanwa.

Bino abyogeredde ku mukolo gwamattikira ge agemyaka 27, agakwatiddwa mu lubiri lwe e Mengo.

Ssabasajja asiimyee olwebikoleddwa gavumenti eya wakati, wabula abajjukizza obutelabira endwadde endala, nga mukenenya, kubanga mu kuteeka amaanyi ku covid-19 ebirwadde ebiralala byandyeyongera.

Kati Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, agambye nti ddala omukolo guno gwabyafaayo kubanga gyali emyaka 27, gyebamala ngobwakabaka buuwereddwa.

Yyo gavumenti eya wakati etenderenderezza Kabaka wa Buganda nobwakabaka awamu olwokukunga abantu, okulwanyisa nokwetangira ekirwadde kya covid-19.

Omumyuka womukulembeze we gwanga Owek. Edward Kiwanuka Ssekandi nga yakiridde gavumenti eya wakati agambye nti Kabaka Mutebi abadde mpagi yamaanyi, okujjukiza abantu.

Ku mukolo guno Ssabasajja asiimye nabaako abantu, abenjawulo bagonomoddeko amayinja agomuwendo oba award olwebyo byebakoze eri ensi Buganda.

Kuno kubaddeko Paul Kawanga Ssemogerere, ngasimiddwa olwokubeera ekyokulabirako mu byobufuzi bya Uganda, Sheikh Ussain Rajab Kakooza nabalala.

Omukolo guno guvugidde ku mubala ogugamba, okweyambisa obuwangwa okulwanyisa ekirwadde kya

Omutanda akubiddwa emizinga 27 egyoleka emyaka 27 gyamaze ku nnamulondo ngalamula.

Abagenyi abebitiibwa abalala njolo abetabye ku mattikira gano.

Omukolo guno gukwatiddwa mungeri eyenjawulo kubanga tegwetabyeko bantu baabulijjo nga bwekibadde kitera okubeera olwekirwadde kya covid-19.