Amawulire

Kabaka atenderezeddwa okulamula Obuganda obulungi

Kabaka atenderezeddwa okulamula Obuganda obulungi

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Prossy Kisakye,

Ssabasajja empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, asiimiddwa olwemirimu emirungi gyakoze bukya atuula ku nnamulondo

Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokukuza amazaalibwa ga ssabasajja agomulundi 66, mu lubiri e Mengo, Kattikiro Charles Peter Mayiga agambye nti omutanda yakomyawo essuubi mu bantube.

Anyonyodde nti ku mulembe omutebi abaddu na bazaana ba ssabasajja bakola butaweera okuteeka Buganda ku ntikko.

Kabaka asiimye nasiima emirimu egikoleddwa abantu be 5 mu kuzimba obwakabaka era ne baweebwa amayinja agomuwendo.

Mu basimidwa kuliko omuyimbi wenyimba ezekinnansi Annet Nandugya, Haji Ibrahim Muwanga Kivumbi, munnabyabusuubuzi amanyidwa nga as BMK, Timothy Mugerwa ngóno munnamawulire, Dr. Chapman K, Kigozi, Joseph Kiwanuka ne Tofiri Malokweza.

 Omukolo gwetabidwako abantu 200 okwewala omujjuzo wakati nga eggwanga likyalwanagana ne kirwadde kya covid-19

Mungeri yemu ne kibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kiyozayozeza omutanda okutuuka ku mazaalibwage ne kawefube gwatadde mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP, Okoler Opio, asabye bannauganda okukopa ekyokulabirako kya kabaka begatte ku lutalo olwokulwanyisa siriimu mu Uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *