Amawulire

Joshua Cheptegei awagudde empaka za 10km mu Spain

Joshua Cheptegei awagudde empaka za 10km mu Spain

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2019

No comments

Bya Rita Kemigisa, Munnauganda Joshua Cheptegei amenye likooda mu kutolontoka emisinde gye byalo egya km 10 ezibadde mu kibuga Valencia mu ggwanga lya Spain.

Ono addukidde eddaakika 26 ne seconda 38 zokka n’amenyawo likooda y’omunnaKenya Leonard Komon gyeyakola mu 2010 eyaddukira eddakiika 26 ne seconda 44.

Mu mwezi gwe 10 omwaka guno, Cheptegei yawangula empaka ze misinde eza10,000M ezaali mu kibuga Doha songa ate ne mwezi ogwokusatu yawangula emisinde egya 10km mu mpaka ezaali mu Budaaki.