Amawulire

Issa Muliro alumiriza abasirikale okumukuba olw’okwambala mask emyufu

Issa Muliro alumiriza abasirikale okumukuba olw’okwambala mask emyufu

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Omusajja etemera mu gyobukulu 45-year enyigga biwundu kubigambibwa nti akubiddwa abasirikale ba poliisi e Mbale lwakumusanga nga ayambadde mask emyufu ku maaso

Issa Muliro, nga mutembeyi omutuuze we Namabasa mugombolola yé Namabasa mu kibuga kye Mbale yalumiriza poliisi okumukuba lwa kwambala kakokolo akamyufu

Muliro atubuulidde nti avuddemu amannyo 2 natusibwako nobuvune obulala oluvanyuma lwokukubibwa obubi enyo nagwa ne mumwala

Ono anyonyodde nti ye simuwagizi wa people power ekikulemberwa Robert kyagulanyi wabula kimubuuseko abasirikale okumusalako bwabadde agenda mu katawuni ne bamukuba olwokwambala mask emyufu