Amawulire

Irene Namubiru bamubanja

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Namubiru irene

Eby’omuyimbi Irene Namubiru ssi birungi n’akatono.

Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue authority emmotoka ye kika kya Toyota Landcruiser bagiwambye ng’akadde konna bagitunda lwa butawa misolo.

Abawooza bano bagamba nti Namubiru yakola ekivvulu ng’atongoza oluyimba mu mwaka gwa 2011 kyokka n’atasasula okutuusa kati

Akulira abakola ku babanjibwa Abdusalam Waiswa agamba nti ensimbi zino zizze zeeyongera okutuuka kati ku bukadde 20 nga ssinga tasasula okutuuka nga 1 omwezi ogujja emmotoka eno yakutundibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *