Amawulire

IMF ekirizza okuwola Uganda akawumbi $ 1

IMF ekirizza okuwola Uganda akawumbi $ 1

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Olukiiko olwawaggulu oluddukanya ekittavvu kya International Monetary Fund (IMF) bakakasizza okusaba kwa Uganda, wansi wentekateeka ya Extended Credit Facility okubawola akauwmbi ka $ 1 nga bwebwesedde bwa silingi za Uganda 3 n’ekitundu okuwagira gavumenti mu ntekateeka zokudabulula egwanga okuva mu kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Ssente zino zigenda kuwagira ebyobusubuzi okuddamu okutojjera nokwongera ku nyingiza eyamaka.

Wabula bino webijidde nga ssababalirizi webitabo bya gavumenti gyebuvuddeko yalabula ku bbanja lya Uganda erisukiridde nti lyandibava mu ngalo.

Ku ssente zino, obukadde bwa $ 258 era zigenda kuwagira embalirira ye’gwanga eyomwaka gwebyensimbi guno eyayisibwa gyebuvuddeko.

Kinajjukirwa nti mu May w’omwaka oguwedde wansi wentekateeka ya Rapid Credit facility era bawola Uganda obukadde 491 n’ekitundu ezaali zirubirirdde okuwagira ebyenfuna ebyaali bikoseddwa ennyo olwa ssenyiga omukambwe.

Ebyenfuna byegwanga biyimiridde ku 4.3% wabula gavumenti erubiridde okbisitula okudda ku bitundu wakati wa 6 ne 7% mu 21/22.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *