Amawulire

ICC egenda kulamula kugwa Ongwen

ICC egenda kulamula kugwa Ongwen

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti yensi yonna etuula mu kibuga Hague, the International Criminal Court olwaleero egenda kulamula ku misango gyeyali omuddumizi wabayekera ba LRA Dominic Ongwen.

Ongwen abadde awerennemba nemisango 70 egya kalintalo, gyeyadiza mu mambuka ga Uganda.

Okusibziira ku akulira emirimu gya ICC egyebweru wano mu kitundu kya Kampala, Maria Kamara, ennamula eno egenda kutuuka ku bantu buterevu ku mikutu gya TV egyenjawulo okuli NBS ne lediyo eze Gulu.

Abalamuzi 3 bebabadde mu mitambo gyemisango gya Ongwen okuli Bertram Schmitt, Péter Kovács ne Raul Cano nga bagenda kulamula nga basinziira ku bujulizi bwabantu abali mu 100 okuva omusango guno lwegwatandika okuwulirwa nga 6 Decemba mu mwaka gwa 2016.

Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi 69 nga bakugu mu nsonga ezenjawulo ate oludda oluwawabirwa neruleeta abajulizi 54 nga waliwo nabantu 7 abamu kwabo abakosebwa olwebikolwa byabayekera bya LRA aba Joseph Konny, Ongwen beyadumiranga.

Ongwen avunanibwa okulumba abantu babulijjo mu nkambi zababundabunda ku byalo Lukodi, Pajule, Idek ne Anil mu Okitobba wa 2003 ne June wa 2004 okubakolako ebikolwa ebitali byabuntu.

Avunanibwa butemu, okugezaako okutta, okusobya ku bakazi, okuteek abantu mu buddu, okwonoona ebintu, okukaka abakazi mu bufumbo, obuddu mu bikolwa ebyomukwano, okutulugunya abantu nbirala.

Oludda oluwaabi era lugamba nti nga 1 July mu 2002 ne 31 Decemba mu 2005, Ongwen ne Joseph Long bwebaali baddumira abayekera bawamba abakazi nebabakaka okufuuka bakazi baabwe.

Kati kooti erindirirddwa okulamula ku misango gino gyonna olwaleero.