Amawulire

Hajji afiridde ku myaka 96 naleka abaana 115

Hajji afiridde ku myaka 96 naleka abaana 115

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Omusajja owabakozi nabaana abangi azikiddwa mu kasirise, olwebiragiro bya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Hajji Nuuru Ssemakula abadde amanyiddwa nga Nuuhu, azikiddwa mu maka ge ku kyalo Omurusa mu gombolola ye Rubaare mu disitulikiti ye Ntungamo.

Omusajja ono enjasabiggu, yafiridde ku myaka 96, yazaala abaana 115 mu bakazi abenjawulo.

Wabula abaana 64 bokka bebetabye mu kuziika kuno, atenga abazzukulu 200 nabakazi 6 babaddewo.

Waddenga poliisi yagezezaako okukwasisa ebiragiro ku ssenyiga omukambwe, abantu 500 baziise wakati mu bwerinde.

Kitegezeddwa nti omugenzi era alina abaana, ebikonge mu poliisi namu magye ge’gwanga.

Kitegezeddwa nti ono ye musiraamu eyasokera ddala okugenda Mecca mu kitundu kye Rushenyi omwaka gwali gwa 1977, atenga abadde nemu byobusubuzi mubyentambula e Kabale ne Mbarara.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *