Amawulire

Gwebawambira e Mukono bamusanze Mpigi

Gwebawambira e Mukono bamusanze Mpigi

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2021

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abatuuze mu kabuga k’e Kammengo baliko omusajja gwebazudde, nga kigambibwa yali yawambibwa abebyokwerinda kyokka oluvannyuma naasulibwa.

Ono ye Kagimu Twaha, wa myaka 28 nga mugoba wa taxi, wabula agamba nti yawambibwa okuva e Kyampisi mu district y’e Mukono nga 21 mu Decemba omwaka oguwedde.

Ono atwaliddwa ku poliisi y’e Kammengo bamuyambeko okumuzza, gyeyava.

Ono agamba nti bamukwakkula mu taxi namba UAV 335/V bweyali ava okunywa amafuta ku ssundiro erimu e Mukono, nga bamutwalira mu mmotoka kika kya Drone, ngabasajja abamutwala balina emmundu AK-47 ne bbasitoola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *