Amawulire

Gwebataliyirira awawabidde UNRA

Gwebataliyirira awawabidde UNRA

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Ekitongole kyebyengudo mu gwanga, Uganda National Roads Authority bakiwawabidde mu mbuga.

Waliwo omusubuzi abatutte mu mbuga ngayagala kumuliyirira obuwumbi 2 nobukadde 100 nga yoomu ku bakosebwa mu polojekiti yokukola oluguudo lwa Kira-Matugga.

Ettaka mwebayisa oluguudo lisangibwa ku block 185, plot 967 a Namugongo ku luguudo oluva e Kira okudda e Kasangati.

John Mugisha mu mpaaba gyeyatadde mu kooti enkulu etawuluza enkayana agamba nti mu ttaka lino mwalimu, ekizmbe kye ngazimba woteeri, lyetoloddwa olusozi nebintu ebirala ebyomuwendo.

Okuyita mu bannamateeka be aba Rutebemberwa and Co Advocates, agamba nti emirimu gye mingi egyagotaana, olwebintu bye byebayonoona.

Ono agamba nti nga 13 mu Decemba wa 2018, UNRA yamulagira ayimirize emirimu gye ku ttaka lino, oluvanyuma nga 26 March 2019 nabategeeza mu butongole nti lino ttaka lye songa yali akoseddwa olwemirimu gyokukola oluguudo.

Mu April wa 2019, bamubalirira, ngalina okusasulwa obuwumbi 4 nobukadde 600 ate mu Septemba nga 17 2020, UNRA baddamu nebamutegeeza nti bazeemu nebamubalirirra mu kwetegereza, ssente nebazsisala okudda ku buwumbi 2 nobukadde 800.

Kati ayagala kooti ekake UNRA, okumusasula bamuteremu nezensusuuba obukadde 21 olwokumugotaanya.