Amawulire

Gwebakwatidde mu bubbi bamusse

Gwebakwatidde mu bubbi bamusse

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2020

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abatuuze ku kyalo Kiruma mu gombolola ye Butoloogo mu district ye Mubende baliko omusajja gwebakubye emiggo egimutiddewo oluvanyuma lwokumukwata nemundu ngagezaako okubba.

Omu ku batuuze mu kitundu kino ategerekeseko erya Daud yakutte omusajja ono, bwabadde ajjeyo, era abatuuze bamwanguyidde olumujeko emundu kwekumukuba emiggo okutuusa lwasizza ogwenkomerero.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Mubende Ahimbisibwe Julius akakasizza okutibwa kwomisajja ono atanaba kutegerekeka asangiddwa ne mundu eyekika kya AK 47.

Agambye nti emundu eno yabibwa okuva ku musirikale wa UPDF akuuma ku office za RDC e Mubende.

Police omulambo egujewo negutwala mu ddwaliro e Mubende okwekebejebwa ngokunonyereza poliisi agamba nti kutandise.