Amawulire

Gwebakutte n’ebigalagamba by’olugave avunaniddwa

Gwebakutte n’ebigalagamba by’olugave avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2021

No comments

Omusajja owemyaka 25 avunaniddwa, oluvanyuma nebamusindika ku alimanda mu kkomera e Kitalya.

Ono kigambibwa nti baamusanga n’ebigalagamba by’olugave, ebizitowa kiro 49 n’obutundutundu 4.

Omuvunanwa ye David Kisa nga mulimi, era omutuuze mu disitulikiti ye Kiryadongo, asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo wabula neyegaana.

Kati wakubeera ku alimanda okutukira ddala nga 26 May, lwanakomezebwawo omusango gwe ogw’okusangibwa nobutonde bwomu ttale, gutandike okuwulirwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti Kisa nabalala abakyayigibwa, nga 2 May 2021 ku kyalo Kiyogoma Kiryadongo basangibwa nebintu bino mu bukyamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *