Amawulire

Gwebakuba amasasi apooca na biwundu ewaka

Gwebakuba amasasi apooca na biwundu ewaka

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omusajja eyakububwa amasasi apooca, agamba yetaaga buyambi.

Ibrahim Kambugu amanyiddwa ga Saleh, omutuuze we Namawojjolo yoomu ku bantu abakosebwa nasigaza ebiwundu mu kwekalakaasa kwanga 18 Novemba, abantu bwebaali bawakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi.

Kambugu nga mukubi wamayinja agambye nti ku lunnaku olwo yali ava ku mirirmu gye, wabula alina weyalaimirirrako yagenda okwesanga ngavaamu omusaayi.

Kambugu gwetusanze mu maka ge, mu Namawojjolo East mu ggombolola ye Nama e Mukono agamba nti eby’okwekalakaasa yali tabimanyi olwokubanga olunaku yalumala mu lusozi ngakola mirimu gye.

Ono atulombojjedde ennaku emuyonka obutaaba okuva ku lunaku olwo.

Ono yamala omwezi omulamba mu ddawaluiro e Mulago, wabulanga teyafuna kuyambibwa okwetagisa olwobutaba na snimbibulwa bwensimbi.

Ebyembi, Kambugu agamba nti kakyanga akubwa masasi tafunangako muntu okuva mu gavumenti eyali amutukiridde okumuyamba.

Syvia Bangi, mukyala wa Kambugu agambye nti, ebyuma ebyetaagisa okuteeka mu kugulu kwa bba tebalina ssente okubyetusaako.

Ono akubidde gavumenti omulanga, okujja emuddukirire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *