Amawulire

Ggoobi alayidde okufafagana nabali b’enguzi

Ggoobi alayidde okufafagana nabali b’enguzi

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omuwandiisi owenkalakkalira omugya mu minisitule yebysnimbi eranga ye muwandiisi we’gwanika lyegwanga Ramathan Ggoobi yeyamye nti agenda kuteeka essira ku bwerufu mu nzirukanya y’emirimu nenkwaya ya ssente.

Ggoobi yebazizza omukulembeze we’gwanga olw’okumuwa omukisa okuwereza mu kifo ekyo, era agambye nti agenda kukola obutabaliira.

Agambye nti kisobokera ddala, egwanga okukulakulana okutuuka mu lubu lwamawanga agali waddewaddeko mu byenfuna, oba Middle Income Economy ssinga emirimu gikolebwa bulungi n’ensimbi n’ezikwatibwa mu butuufu.

Ate abamu ku bannYuganda baanirizza ekyakoleddwa omukulembeze we’gwanga okuwumuza abamu ku bawandiisi abe’nkalakkalira, ebifo nabijuzaamu abappya.

Mu nkyukakyuka omukulembeze we’gwanga zaakoze akawungeezi akayise abawandiisi 7 abawumuzza.

Abawumuziddwa kuliko Kintu Guwatudde abadde omuwandiisi owenkalakkalira mu wofiisi ya Ssabaminisita we’gwanga, Pius Wakabi abadde mu minisitule yebyobulimi, Amb Patrick Mugoya abadde mu minisitule yensonga ze bweru we’gwanga, Jane Kibirige abadde kalaani wa palamenti, David Ebong, Benn Mutambi ne Kivumbi Lutaaya.

Kati munnabyanfuna era eybuyzibwako Amos Wekesa, agambye nti lino lyekkubo ettuufu eri enkulakulana ye’gwanga.

Asabye nti nabalala abakuliridde babawumuze, babawummuze ebifo babitekemu abato.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *