Amawulire

Gen Tumwine alabudde aba NUP

Gen Tumwine alabudde aba NUP

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita webyokwerinda bye gwanga Gen Elly Tumwine abalabudde abavuganya gavumenti abekibiina kya NUP, obutagezaako okugeteka okwekalakaasa kwebayise eokwemirembe.

Agambye nti buno butabanguko na bwegugungo, babusiize akazigo nti kwekalakaasa okwemirembe.

Akulmbera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi yadumidde okwekalakasaa kuno, okuwakanya obukulembeze bwa Yoweri Museveni owa NRM.

Kyagulanyi agamba nti obuwnaguzi bwe mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January 2021, nti okulonda kuno yakuwangulira ku 54.19%.

Kati Gen Tuwmine alabudde nti tebajja kukiriza bikolwa byonna ebyobutali butebnkevu, ngagambye nti ngabebyokwerinda bategese ekimala.

Tumwine agambye nti Uganda kyeyetaaga kati, kwekuteesa kungeri ebiseera ebyomu maaso gyebagenda okubinywezaamu.